Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 346 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Pulezidenti Museveni asisikanye Abataka ba Buganda

March 31, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Abataka ba Buganda bankyaliddeko mu maka amakulu wano e Ntebe mu Busiro olunaku lwajjo, nga baakulembeddwa Owek. Joyce Ssebuggwawo. Nabannyonnyodde nti newankubadde banange bangi baali bawakanya eky’okuzzaawo Obwakabaka nze nabategeeza nti eby’ennono nsonga nkulu nnyo mu kuzimba Eggwanga. Era ffenna netukkiriziganya nti Obwakabaka buddewo. Eby’Ennono mbyagala nnyo kubanga n’eri ewaffe mu Ankole, omuntu avudde ku nnono awaba n’abula.
Yadde nga waliwo eby’ennono ebirina okukyuuka nga ssaayansi bwazze atuwabula. Katugeze; nga okunywa amata agatali mafumbe, okufumbiza omwana ow’obuwala eyakagenda mu nsonga emirundi ebiri gyokka, mu nnono ng’akabonero akalaga nti akuze naye nga mubutuufu tanneetuuka, n’ebirala. Ennono ky’ekinyusi ky’embeera z’abantu. Naye zetaaga okwekkeneenyezebwa.”