Kayihura annyonnyodde ku by’okwerinda ebyeyongedde ku Palamenti

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Aduumira Police mu ggwanga, General Kale Kayihura avuddeyo n’annyonnyola  ku byokwerinda ebyongedde okunywezebwa ku Palamenti, agamba nti waliwo ababadde batiisatiisa okukyankalanya emirimu gy’ababaka.

Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire ku Palamenti, ategeezezza nti Palamenti eteekeddwa okukola emirimu gyayo mu mirembe awatali kutaataaganyizibwa kwonna y’ensonga lwaki boongedde okunyweza ebyokwerinda era mu mbeera eno omusasi waffe atutegeezezza nti abaserikale bateevuunya nga buwuka nga n’ebimotoka by’omukka ogubalagala biri bulindaala ku Palamenti.

Share.

Leave A Reply