Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 199 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Ssaabasajja asiimye babbule erinnya lye mu kyombo ekituumiddwa MV KABAKA MUTEBI II

September 9, 2021 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nakiriza kampuni ya Mahathi Infra Uganda Ltd ebbule elinnya lye mu kimu kubyombo ebigenda okutambuza amafuta okuva e Mombasa okugaleeta kuno nga kituumiddwa MV KABAKA MUTEBI II.
Bino byogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde alambuzibwa ddipo y’amafuta eri mukuzimbibwa ku kyalo Bugiri Bukasa okumpi ne Nyanja Nnalubaale nga pulojekiti eno esuubira okuwementa obukadde bwa doola z’Amerika obusukka mu 300.
Katikkiro asinzidde eno nasaba ba musiga nsimbi bonna okukuuma obutonde bw’ensi nga bakola emirimu gyabwe wano mu Uganda era nabasaba n’okusosowaza abantu b’ekitundu nga bagaba emirimu.
Ssentebe wa Board era akulembeddemu omulimu gw’okulambuza Katikkiro, Captain Mike Mukula, atabukidde abakungu ba Gavumenti abasaba enguzi bamusiga nsimbi nti bano babalemesezza enkulaakulana mu ggwanga naasaba President Museveni okubakwatako n’omukono ogwekyuuma.