Pulezidenti Museveni alonze Maj. Gen. Muhanga okukulira ebikwekweto mu Kampala

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Maj. Gen. Kayanja Muhanga nga agenda okukwanaganya ebikwekweto by’ebitongole by’ebyokwerinda nga alipoota agiwa butereevu ow’omuduumizi ow’okuntikko Pulezidenti Museveni.
Omumyuuka womwogezi weggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF Lt. Col. Deo Akiiki avuddeyo nategeeza nti Maj. Gen. Muhanga yagenda okukulira ebikwekweto byonna eby’ebitongole by’ebyokwerinda omuli Uganda Police Force military n’ebitongole ebikessi.
Ono akolondebwa abadde yakadde okuva mukutendekebwa kwa mwaka mulamba mu National Defense College e South Africa. Ono yaduumirako ku kibinja eky’okubiri ekya UPDF ekisangibwa e Makenke mu Disitulikiti y’e Mbarara ngera yaliko UPDF Contingent commander e Somalia. Ono emirimu gye gyatandikiddewo mbagirawo nti era yeyaduumidde ebikwekweto byonna ebyakoleddwa nga tuyingira omwaka omupya mu Kampala n’emiriraano.
Ono yegasse ku Bannamaggye okuli; Maj. Gen. Paul Lokech, Deputy IGP, Maj. Gen. Sam Kawagga, Commander First Division Kakiri; Maj. Gen. Leopold Kyanda, chief of staff land forces, Maj. Gen. Abel Kandiho, Commander Chieftaincy of military Intelligence ne Brig Gen CS Ddamulira, Director Crime Intelligence mu Poliisi.
Share.

Leave A Reply