Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 263 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Akakyankalano ku kkooti e Nakawa mu gwa Kaweesi

June 15, 2017 · Mubiru Ali
Wabaddewo akakyankalano ku kkooti e Nakawa nga ab’enganda z’abantu abiri  abaagombebwamu obwala gyebuvuddeko ku byekuusa ku kutemulwa kwa Afande Andrew Fellix  Kaweesi, abantu bano bwebavudde mu mbeera nga Police ebagaana okwogerako n’abenganda zaabwe ate n’okuyingira munda mu kkooti. 
Abavunaanibwa babadde balabiseeko mu maaso g’omulamuzi ku ddaala erisooka Noah Ssajjabi naye nga abongezzaayo ku alimanda mu kkomera ekkulu e Luzira okutuusa nga enzingu 29 Ssebaaseka omwaka guno oluvannyuma lwa Police okutegeeza nti ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku musango guno.
Abantu bano babadde banyiikaavu nga bagamba nti Police ebadde tebawa mwagaanya kwogerako na ba nganda zaabwe .
Wabula Police ebadde teyinza kunnyonnyola lwaki abantu bano bakugirwa.