Pulezidenti goba ababbi mu Gavumenti yo – Minisita Kasaija
Minisita w’Ebyenfuna Matia Kasaija; “Ensonga y’obuli bw’enguzi n’obukenuzi, Pulezidenti, esusse nnyo era abamu twetamiddwa. Pulezidenti olina okukozesa omukono ogw’ekyuuma kati. Banaffe abali b’enguzi tebalina kubeera mu Gavumenti yaffe. Twakola butaweera okutuusa Eggwanga lino weriri kati, naye abantu abamu bbo baagala kutuzza mabega. Baagala kuzza Ggwanga lino mu ntalo.” Okusinziira ku alipoota ya Kaliisoliiso wa Gavumenti eraga nti Uganda efiirwa obwesedde 10 mu buli bw’enguzi n’obukenuzi ekikonzibya obuweereza eri Bannayuganda.

