Prof. Balunywa asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira
Eyaliko Ssenkulu wa Makerere University Business School Prof. Waswa Balunywa asindikiddwa ku alimanda mu Kkoomera e Luzira ku bigambibwa nti yakozesa bubi offiisi ye wakati wa February – April 2023 bweyawa abantu 3 emirimu mu bifo ebyobukulembeze ku MUBS nga tebalina buyigirize bubaweesa bifo bino.
Oludda oluwaabi lugamba nti kino kyafiiriza Gavumenti ensimbi ezasaasanyizibwa ku bantu abatalina bisaanyizo.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

