Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Ssekikubo akulembeddemu Ababaka abalala okujja obwesige mu ba commissioner abeewa akasiimo

May 22, 2024 · Mubiru Ali
Waliwo Ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwamu Omubaka wa Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, Joseph Ssewungu (Kalungu West), Sarah Opendi (Tororo Woman MP), Patrick Nsamba Oshabe (Kassanda North) ne Yorke Alioni Odria (Aringa South) abatandise okukungaanya emikono okuva mu Babaka banaabwe nga baagala okujja obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti abenyigira mukugabana ensimbi y’omuwi w’omusolo akawumbi 1 mu obukadde 700 ng’akasiimo k’obuweereza ‘service award’. Bano kuliko; Mathias Mpuuga Nsamba (MP Nyendo – Mukungwe), Esther Afoyochan (Zombo Woman MP), Solomon Silwanyi (Bukooli Central MP) ne Prossy Mbabazi Akampurira (Rubanda Woman MP).
Bya Barbara Nabukenya