Poliisi tegaananga ku bivvulu bya Bobi Wine – Kayima

Omwogezi wa Poliisi Emilian Kayima avuddeyo nasambajja ebyayogeddwa omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nti Poliisi yayimirizza ebivvulu bye byonna omwaka guno ngegamba kino tekisoboka wabula abategesi balemereddwa kutuukiriza obukwakulizzo bwa Poliisi bwebawa.
Kayima agamba nti Poliisi yagaana bivvulu ebyali e Gulu ne Nakawuka kuba abategesi baabyo baali balemereddwa okutuukiriza obukwakulizzo obwabawebwa Poliisi. Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire Kayima ategeezezza nti tewali amulemesa wabula bukwakulizzo bwebalina okutuukiriza.
Kayima agamba nti Poliisi etaddewo obukwakulizzo obulina okugobererwa abategesi b’ebivvulu bonna era nga bwebuno;
1. Abategesi balina okuwandiikira Inspector General of Poliisi okubakiriza.
2. Abategesi balina okulaga IGP enkola zebateddewo okusobola okufuga abadigize.
3. Abategesi balina okulaga enkola zebataddewo ezisobola okudduukirira wamu n’okuyamba singa wabaawo obuzibu bwonna.
4. Balina okuteekawo obukuumi nga busobola okuwanirira omuwendo gw’abantu ogubeera guzze mu kivvulu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
sipiika wa palamenti atwaliddwa mu ddwaliro