Poliisi mu Arua ezudde emmundu eyabibwa ku musirikale eyattibwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ab’ebyokwerinda mu Arua bazudde emmundu eyali ey’omusirikale wa Uganda Police Force eyattibwa omwaka oguwedde. Emmundu yazuuliddwa mu kibira kya Barifa mu Arua Hill Division Arua Municipality nga ekikwekweto kyabadde kikulembeddwamu Poliisi n’eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF.

Corporal Santos Chandwong yalumbibwa abatamanyangamba abamutta nga 31-July bweyali ku Ayivuni Police Post mu Arua gyeyali akola nga OC. Ono yakubwa ku mutwe nga wakayita wiiki 3 zokka nga aleeteddwa mu kitundu kino era emmundu ye ey’ekika kya AK-47, amasasi 50, n’ebibbwa wabula piki piki wamu n’essimu ye eyomungalo babireka mu nnyumba ye.

Josephine Angucia omwogezi wa Poliisi mu West Nile agamba nti okuzuulibwa kw’emmundu eno kwakubayamba okuzuula ani yatta Chandwong.
Angucia, agamba nti batemezeddwako omuntu omu okuva mu kabondo k’abamenyi b’amateeka nga akakulira mu kiseera kino ali mu kkomera lya Arua Government Prison awerennemba na ggwa bubbi wamu n’obutemu.

Share.

Leave A Reply