Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ereese Patrol z’ebigere mu Kampala n’emiriraano

July 5, 2018 · Mubiru Ali

Omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi Brigadier Sabiti Muzeeyi ekiro ekikeeseza olwaleero ayogeddeko eri abasirikale ba Poliisi abagenda okulawuna ku bigere ebitundu bya Kampala n’emiriraano.

Ono yasabye abasirikale ba Poliisi okukolera awamu n’abantu babulijjo okusobola okukolawo enjawulo mu by’okwerinda.

Ayongedde nagamba nti; ndi musanyufu, kino kyetulina okukola okusobola okumalawo obumenyi bw’amateeka mu bitundu eby’enjawulo. Bano abasabye okutereeza ebifo ebibeeramu abantu abangi okusobola okugumya abantu babulijjo nga bakola emirimu gyaabwe.