97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Poliisi ezudde ebbokisi z’amasasi 2 e Masaka

Uganda Police Force mu kibuga Masaka mu Divizoni ya Kimaanya Kabonera egudde ku bibookisi bibiri ebiteeberezebwa okubaamu amasasi nga bino bisangiddwa mu muzigo ogumu mu tawuni ye Kyabakuza.
Amyuka Omubaka wa Pulezidenti mu kibuga Masaka atwala divizoni ya Kimaanya-Kabonera, Haji Ahmed Kateregga Musaazi ategeezezza nti omuzigo mwebasaanze ebibookisi bino waliwo omupangisa eyagulimu n’alemererwa okusasula naabulawo nga nannyini nnyumba bweyaganze okukebera ennyumba ye kwekubigwako.
RCC alabudde abantu mu kitundu kino okukimanya nti abatujju mwebali era n’enfo zaabwe mweziri naye ab’ebyokwerinda babalinnya kagere bwatyo n’asaba abantu buli omu okuba mbega wa munne basobole okubafunza.

Leave a Reply