POLIISI ETANDISE OKUNOONYEREZA KU BIBADDE EWA HON. NAMBOOZE

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwetandise okunoonyereza ku bigambibwa nti wabaddewo omusajja atanategeerekeka enkya yaleero ayingiridde Omubaka wa Mukono Municipality Munbakibiina kya National Unity Platform Nambooze Betty Bakireke.
Okusinziira ku Poliisi egamba nti omusajja ono abadde muwanvu nga muddugavu nti era afunye omukisa okuyingira ku ssaawa nga kumi nabbiri ez’okumakya nagenda butereevu mu kisenge ky’omubaka kuba kibadde kiggule. Amaka gano gasangibwa mu Nakabago cell, Ntawo ward, Central Division, Mukono Municipality.
Okisinziira ku mumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire; agamba nti mukadde ako Omubaka abadde yetegeka kugenda mu Palamenti ng’abaddeyo n’olukiiko. Kigambibwa nti Hon. Nambooze akubye enduulu era bba Bakireke najja mangu nnyo okumutaasa nayenyoola n’omusajja ono. Luke agamba nti okusinziira ku balirwana omusajja yasimatudde nadduka nalinnya booda booda ebadde emulinze wabweru.
Luke agamba nti Poliisi y’e Mukono ezudde akaddeeya akabaddemu ejjambiya empya bbiri mu kalimiro k’enyaanya akatono akali mu maka g’omubaka.
Luke ayongerako nti bafunyeeyo n’ebizibiti ebirala nti era nabalabye ekibaddewo bakoze sitatimenti. Ayongerako nti Poliisi etandise okwekeneenya vidiyo ezikwatiddwa kkamera enkettabikolwa ez’omukitundu okusobola okuzuula omugoba wa booda booda.
Share.

Leave A Reply