Breaking
News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza…. News: Liirino eggwanga lyabantu ngomusajja okuwasaayo atwala mitwe gya nte ne bamuwa omuwala singa gimulema okwanjula kuba kugaanyi.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 193 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Poliisi etandise okunoonyereza ku bya Gen. Tumukunde okukuba omuntu

September 26, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID Charles Twiine; “Poliisi y’e Wakiso etandise okunoonyereza kubigambibwa nti Lt. Gen. Henry Tumukunde alina omuntu gweyakubye.
Kigambibwa nti 19/9 /021, ku ssaawa kumineemu ezolweggulo e Muduuma mu Wakiso, Gen. Tumukunde yakuba Jasimwa Willy 29 nga akozesa enkoni nga amulanga okusaalibira mu ttaka lye.
Kigambibwa nti Gen. Tumukunde yamutiisatiisa okumutuusaako obulabe obusingako singa Jasimwa oba omuntu omulala asangibwa ku ttaka lino nga talina lukusa kuva gyali.
Jasimwa mukozi wa Mukyala Namusisi Betty bwebakayanira ettaka lino ne Gen. Tumukunde.”