Poliisi ekutte abasuubuzi ababadde bekalakaasa mu Kampala

Uganda Police Force mu Kampala enywezezza ebyokwerinda mu Kibuga Kampala ku Mukwano Arcade abasuubuzi bwebesaze akajegere nebaggalawo amaduuka gaabwe nga bawakanya ekya nnannyini kizimbe okubalagira okusasula omwezi gwa July gwebagamba nti tebakola.
Bano bagamba nti tebajja kuggulawo maduuka gaabwe okutuusa nga Bannannyini kizimbe bakyuusizza mu kiragiro kyebawadde.
Abasuubuzi 3 bakwatiddwa kubigambibwa nti babadde bakuma omuliro mu bantu.
Omumyuuka w’omwogezi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire agamba nti bano basangiddwa nga batambula nebipande nga kati bakuumirwa ku CPS mu Kampala.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply