97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Poliisi egobye musajja waayo lwakusobya ku mukazi

Akulira CID ku Namusita Police Post mu Disitulikiti y’e Buyende, D/IP Godfrey Balikoowa agobeddwa mu Uganda Police Force ku bigambibwa nti yekakatika ku mukyala ow’emyaka 30 eyali agenze okuggula ku mwami we omusango gwobutabanguko mu maka.
Kigambibwa nti abasirikale 3 bagenda awaka okukwata bbaawe wabula nebatamusangayo, bwatyo omukyala ono yategeeza nga bwatasobola kuddayo waka ng’omusajja tebamukutte. Bwezawera ssaawa kumi nabbiri ezolwegulo Balikoowa yagamba omukyala ono nti yali amufunidde wagenda okusula bwatyo namuteeka mu motoka ye nti wabula yamuvuga amutwala mu nkambi ya Poliisi e Nakabira namugulira ebyokulya n’okunywa oluvannyuma namukaka aka Kyagera emirundi 2.

Leave a Reply