Okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’Omulangira Omubuze Ssimbwa David Alexander n’Omuzaana Mary Nankumbi Ssimbwa mu maka gaabwe e Kabowa Obwakabaka bukiikiriddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule eyatumiddwa Ssaabasajja Kabaka ku mukolo guno era ono ayogedde ku mulangira Ssimbwa ng’omuntu eyali omukakkamu, ow’ekisa, omwetowaze, ayaniriza abantu, era ng’awagira Obwakabaka okubeera obunywevu. Omukolo guno gwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Bannaalinya, Abalangira n’Abambejja, Bakatikkiro Abaawummula Owek. J.B Walusimbi n’Owek. Dan Muliika n’abantu abalala. Omulangira Ssimbwa David Alexander yali Muganda wa Ssekabaka Muteesa II era Mutabani wa Daudi Chwa II. Ayogerwako nnyo okuba nti teyakoma kubeera muganda wa Kabaka kyokka, wabula yali mukwano gwe ddala, nga bagenda mu okuyiga bombi, okwetaba mu mizannyo bombi n’okumuwagira mu mirimu gye nga Kabaka, era yalwanirira Obwakabaka mu biseera by’akasambatukko ebya 1966. Omulangira Ssimbwa era yaliko omukiise wa Uganda mu Ggwanga lya China. Rev. Henry James Lukyamuzi akulembeddemu okusaba akubirizza abantu bulijjo okutuukirizanga obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe nga bali ku Nsi olwo n’Ensi esigale ng’ebajjukira ne mu biseera nga bagivaamu dda.
Okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’Omulangira Omubuze Ssimbwa David Alexander n’Omuzaana Mary Nankumbi Ssimbwa
