POLIISI EGENDA KUKWATA BONNA ABATAMBULIRA MU BUDDE BWA CURFEW

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekirabye nti abantu bangi batambulira mu budde bwa curfew eri abebigere nabavuzi b’ebidduka.
Luke agamba nti okusinziira ku biragiro ebyateereddwawo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kukulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 birina okugobererwa nti era wadde nga ne bizineesi zaguddwawo abantu balina okubeera mu maka gaabwe ku ssaawa emu eyekiro.
Booda booda agamba nti zirina kukoma ssaawa kumi nabbiri. Nabwekityo Luke agamba nti Poliisi egenda kunyinyitiza ebikwekweto okukwata abo bonna abamenya ebiragiro bino ebyateekebwawo naddala mu Kampala n’emiriraano era nga anakwatibwa wakuvunaanibwa, emotoka zisikibwe batwalibwe mu Kkooti. Poliisi ekubiriza abantu okutegeka engendo zaabwe ng’obudde bukyali okwewala okutaataganyizibwa.
Asp Luke Owoyesigyire
Deputy PRO KMP
03.08.2021
Share.

Leave A Reply