Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 152 listening Simba FM Live

Ennyonyi esattizza ab’e Mityana

September 15, 2016 · Mubiru Ali

Wabaddewo vvaawo mpitewo mu kibuga Mityana n’ebitundu ebyetooloddewo abantu bwebafubutuse emisinde nga baagala okukuba eriiso ku nnyonyi ey’ekika kya nnamunkanga esoose okwetoloola ekibuga,n’oluvannyuma n’egwa okumpi n’ekibangirizi ekiri ku ddwaliro ekkulu e Mityana. 

Ennyonyi eno tetegeerekeseeko kigendererwa naye ng’abantu bangi beekulumuludde nga abamu balowooza nti obolyawo Pulezidenti Museveni y’azze okulambula eddwaliro ly’ e Mityana okulaba engeri abasawo gyebatambuzaamu emirimu.

Kyokka abalala babadde babugaanye essanyu okukirako ery’omwoki wa gonja olw’okulaba ku nnyonyi.

 

Wabula abamu bagambye nti abasawo ku ddwaliro ery’ e Mityana babadde ku bunkenke nga balowooza nti omukulembeze nabo azze kubakwata ku nkoona nga bwekyali mu bitundu by’e Wakiso .

Wabula wabaddewo okusitula kw’enfuufu n’omusinde ogubadde guva mu nnyonyi eno kyokka nga mpaawo muntu yenna aseguka naye nga tewali muntu yenna  ategedde kigendererwa kya nnyonyi eno era emazeewo eddakiika wakati w’essatu n’ettaano ne yejjawo .

Lino litusakiddwa Joseph Balikuddembe .