Poliisi e Masaka ekutte 3 abateeberezebwa okubeera abatujju

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Abebyokwerinda mu Disitulikiti y’e Kyotera baliko abantu bebakutte nga kigambibwa nti bano babadde benyigira mu bikolwa ebyobutujju era nga basangiddwa n’ebintu ebigambibwa okuba nga bikola bbomu.
Okusinziira ku mwogezi wa Uganda Police Force ow’ettundutundu ly’obukiika ddyo Nsubuga Muhammad agamba nti abasatu bano bakwatibwa ku ssaawa nga munaana nga babadde batambulira mu motoka ekika kya Toyota Noah nnamba UAK 192M nga Poliisi yawaliriziddwa okukuba emipiira amasasi okusobola okubayimiriza.
Nsubuga agamba nti bano okutuuka okukwatibwa kyaddiridde abasirikale ba Poliis abakola kukulwanyisa abatezi ba bbomu babalinnye akagere okutuusa lwebabakutte.
Bya Maggie Kayondo
Share.

Leave A Reply