Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 201 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi e Kole etaasizza ababbi b’ente

May 7, 2019 · Mubiru Ali
Poliisi yawaliriziddwa okukozesa amasasi wamu n’omukka ogubalagala mu Disitulikiti y’e Kole okugumbulula abatuuze ababadde bataamye obugo nga baagala okutta abantu babiri ababadde balowoozebwa okuba ababbi b’ente.
Daniel Okello ne Nelson Elum nga bombi batuuze b’e Alemi Trading Center mu Ayer Sub County bebakwatiddwa abatuuze mu Masaka Trading Center mu Disitulikiti y’e Kole nga boolekera Alebtong.
James Ojok, nga y’e Ssentebe w’ekyalo ky’e Abako, agamba nti bano basangiddwa n’ente ya Vincent Ananga omutuuze w’e Abako. Embeera yatabuse oluvannyuma lwa babiri bano okugezaako okudduka wabula abatuuze nebabakwata. Poliisi okuva e Alemi yazze mangu nnyo nebataasa.
Abatuuze bakunze banaabwe nebalumba Poliisi nga baagala babawe abasibe, akavuvungano kamaze eddakiika nga 30 era nga abasirikale okuva ku Kole Central Police Station bamaze kuyingira mu mbeera.
Abavubuka 2 okuli Solomon Ogwang ne Stella Acheng, bebakubiddwa amasasi nga kati bali mu ddwaliro lya Lira Regional Referral Hospital.