Poliisi e Kabale ekutte 14 nga basabira mu nsiko

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Uganda Police Force e Nyabikoni mu Disitulikiti y’e Kabale yakutte abantu 14 okuva mu Kkanisa ya Word of Faith nga basabira mu nsiko nga kino kimenya ekiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Bano basangiddwa mu nsozi z’e Makanga mu kibira kya ppayini nga ekifo kino babadde bakituumye Prayer Mountain.
Kubakwatiddwa kuliko abasajja 4 n’abakyala 10, Omusumba Obed Ndyamuba yagezezaako okuwolereza abagoberezi be nti babadde baagala kuwanjagira Mukama mukaseera kano akazibu.
Omwogezi wa Poliisi mu Kigezi Elly Maate agamba nti bano babadde basoba mu 50 wabula abalala bemuludde nebadduka bwebalabye Poliisi.

Share.

Leave A Reply