Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 307 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM
News

Poliisi ekutte ababbira ku Northern Bypass 70

May 6, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police; “Oluvannyuma lwobumenyi bw’amateeka okweyongera ku luguudo lwa Northern Bypass omuli abakuba abantu ne motoka amayinja ne paver, Kira Road ne mu Kimbejja, Kyaliwajjala ne Namugongo, Poliisi yakoze ekikweto nga kino kyabaddemu aba LC, PISOS, GISO, CMI, UPDF, CI, wamu ne Poliisi zomu bitundu nekigendererwa kyokumulawo obumenyi bw’amateeka buno. Abamenyi b’amateeka 70 bebakwatiddwa olunaku lw’eggulo.
Ku bano 15 bakwatiddwa ku luguudo lwa Northern Bypass nga bano bakuumirwa ku Poliisi ya Kira Road, abalala 55 bakwatiddwa mu bitundu bya Naalya, Kyaliwajjala, Kimbejja, ne Namugongo, nga bano bakuumirwa ku Kiira Division”