Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 269 listening Simba FM Live

Police yaakuwerekera bonna abagenda ku mikolo e Kololo – Bakaleke

May 11, 2016 · Mubiru Ali

Aduumira Police mu maserengeta ga Kampala Siraje Bakaleke agamba nti bamaze okuwa ebiragiro eri abaduumira Police mu bitundu ebyenjawulo –  bayite ba DPC okuwa obukuumi abantu bonna abava mu bitundu by’egwanga ebyenjawulo abagenda ku mikolo gy’okulayiza Pulezidenti Museveni e Kololo egiriyo enkya nga 12. 05.2016.

Bakaleke akakasa nti ebidduka byonna ebireeta abantu ku mikolo byakubaamu abaserikale okuviira ddala gyebisumbula okutuuka e Kololo ate nemukuddayo bwegutyo.

Ayongera okukilambika nti bayiye Police, Amagye wamu ne bambega ku nguudo zonna oluvannyuma lw’okufuna e mpulubujju nti waliwo abaagala okutabangula emikolo gyokulayiza Pulezidenti.