Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 251 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ab’ebyobulamu baggadde amasomero mu Wakiso

March 23, 2018 · Mubiru Ali

Ekitongole ky'ebyobulamu mu Disitulikiti  y'e Wakiso kiggadde amasomero 12 mu ggombolola y' e Mende mukaweefube w'okukuuma obuyonja. 

Kino kiddiridde Minisitule y’obutonde bw'ensi n’amazzi okulangirira ssabbiiti eno yonna okuyonja n'okutunuulira eby'obutonde byonna omuli ebibira, entobazzi ate n'amazzi amayonjo.

Ekibinja ekikulembeddwamu Kintu Simon Peter omumyuka w'akulira eby'amazzi mu Disitulikiti  eno, kibaddeko abasawo, police ab'emiruka era batalaaze ebyalo ebiwerako.

Agamu ku masomero gebaggadde kwekubadde n'erya Fatumah Islamic Centre, eribadde lisuza abaana abasoba mu nkaaga mu kazigo akafunda okutali ddirisa ate nga n'bawalala tebalina wasulwa.