Pallaso ne banne baguddwako gwa bubbi n’okwonoona ebintu – Onyango
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwetandise okunoonyereza ku musango ogwawabiddwa omuyimbi Mulwana Patrick aka AlienskinUg ngawawabira muyimbi munne Pius Mayanja aka Pallaso.
Onyango agamba nti Pallaso nekibinja kye baguddwako emisango okuli ogw’obubbi wamu nokwonoona ebintu.

