Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 1,026 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Abasirikale ba Poliisi 4 bagobeddwa lwakubba emitwalo 3 egya ddoola

January 23, 2024 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Poliisi SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Abasirikale ba Uganda Police Force 4 nga babadde bakolera ku Poliisi y’e Kabalagala bavunaaniddwa omusango gw’obubbi era nebagobwa mu Poliisi. Kigambibwa nti bano babba emitwalo gya ddoola 3 okula ku musuubuzi eyali ayagala okuzivungisa n’oluvannyuma agule loole.
Bano kuliko; DC Among Phiona, 28, DC Angula Isaac, 27, DC Baluku Shafik, 26 ne DC Galenda Bernard, bonna nga basirikale abakolera ku Kabalagala Police Division.
Kigambibwa nti nga 17.01.2024, Muhammad Olad Abdirahman, 37, Munnansi wa Kenya akolera mu Kisenyi yagenda ku Royal View Hotel Buziga, weyali agenda okusula era nasaba Manager amuyambe okufuna Forex Bureau wayinza okuvungisiza ssente ze ku muwendo omulungi.
Abakozi ba wooteeeri babagulizaako ku DC Among naye eyatemya ku banne 3 era nebagenderawo ku wooteeri ku ssaawa kumi ezolwoggulo nga bekobaanye ne Okello eyali yefudde broker wabavungisa ssente ne manager wa wooteeri nebakwata omusuubuzi. Bano babateeka mu motora nebabavuga okubayisa mu luguudo lwa Kabalagala Barracks nebabatuusa ku Garden Hotel nebabbako ssente emitwalo 3 egya ddoola n’oluvannyuma nebabagoba. Bano oluvannyuma lwokubabba banyumiza ku mukwano gwabwe Munnakenya eyabayamba okuloopa omusango.
Poliisi yakwata Abasirikale bano 4 era bwebafuuza ennyumba zaabwe basangamu ddoola ezimu. Poliisi egamba nti etandise omuyiggo ggwa Okello ne Manager bakwatibwe.