Palamenti yeetaaga obuwumbi 3 okusasula ababaka abapya (3.3bn)

Palamenti y’eggwanga lyattu Yuganda yeetaaga obuwumbi busatu n’obukadde bisatu okukola ku misaala gy’ababaka mu Palamenti abapya 12 mu mbalirira y’eggwanga ejja.

Kino kibikkuddwa ab’akakiiko ka Palamenti ku by’ensimbi nga bakulembeddwamu Omubaka Peter Ogwang bwekabadde kalabiseeko eri akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’amateeka n’ensonga za Palamenti akakulirwa Omubaka wa West Budama Jacob Oboth

Bw’abadde mu kakiiko kano, Ogwang ategeezezza nti mu mwaka gw’ebyensibi ogujja nga gutandika mu mawi gwa Kasambula, basuubira ababaka abapya okuva mu zi Disitulikiti empya ezaatondebwawo ssaako ne zi Munisipaali olwo Palamenti eneeba eweza ababaka bina mu nkaaga mu bataano (465)

Ono ayongeddeko nti beetaaga Palamenti ebongere ku ssente kisobozese ababaka okulambula obulungi emirimu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
amasomero mwegendereze abafere – UNEB