Owamaggye oba Poliisi anakwatibwa nga awa ab’ebbaala obukuumi wakukwatibwa – AIGP Ochom

Pinterest LinkedIn Tumblr +
AIGP Edward Ochom, Director of Operations owa Uganda Police Force, avuddeyo nategeeza nga bwebategenda kulonzalonza ku kwata bakulu mu bitongole byabyakwerinda bonna abavaayo nebawa ebifo ebisanyukirwamu obukuumi abantu nebanywa omwenge nga mpaawo abakuba ku mukono.
Ochom agamba nti balina obukakafu nti wadde amabbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu tebinaggulwa, naye amabbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu bikola bulungi nnyo mu bitundu ebibeeramu abaggagga nga; Kololo, Naguru, Bukoto, Bugolobi, Najjeera nga bikeesa n’okukeesa nga biweereddwa obukuumi okuva mu bakulu mu Uganda People’s Defence Forces – UPDF ne Poliisi.
Ochom agamba nti omusirikale yenna anasangibwa nga yekobaana nebannanyini bbaala nebamuwa ssente okubawa obukuumi ajjakukwatibwa atwalibwe mu Kkooti.
Share.

Leave A Reply