Owa NRM awuuse akalulu k’ e Kagoma

Moses Walyomu Muwanika eyakwatidde NRM bendera mu kalulu k’e ssaza ly’ e Kagoma mu disitulikiti y’ e Jinja yeddiza ekifo ky’omubaka mu Palamenti okukiikirira essaza lino (Kagoma) mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga .

Walyomu alangiriddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero Returning Officer wa Jinja, Rogers Sserunjogi nti afunye obululu 24257 mu kuvuganya okubadde okwakaasa mmeeme n’akalulu akaakuumiddwa obutiribiri.

Okuddamu okulonda kuno kwetabiddwamu abantu abawerako era nga baali baasaba kkooti esazeemu Walyomu ku nsonga ezikwatagana n’okugulirira abalonzi.

Alex Brandon Kintu yaakutte ekyokubiri mu kalulu kano bwabuuseeyo n’obululu 18490 olwo owa FDC Dr. Timothy Lusaka Batuwa n’afuna obululu 8149 ate olwo ye Mohammed Bidondole n’akoobeera n’obululu 1248. 

Oluvannyuma lwokulangirirwa, Walyomu abuulidde ab’amawulire nti agenda kutandikira awo wennyini weyasuubira nti enkulaakilana weggya okutandikira. 

Wabula  ye Brandon Kintu akutte ekyokubiri awakanyizza ebivudde mu kulonda era n’ategeeza nti akululu tekabadde ka mazima na bwenkanya era n’alangirira nga bwaddayo mu kkooti .

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

66 4 instagram icon