Owa Booda Booda akubiddwa essasi

AKUBYE OWA BOODA BOODA ESSASI:
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan PoliceLuke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya CPS bwekutte Opedunu Morris, omukuumi owa Kkampuni ya Pinnacle Security Limitedku bigambibwa nti akubye omuntu essasi olwaleero ku ssaawa kumi nabbiri n’ekitundu ku Equatorial Shopping Mall, mu Kampala.
Akubiddwa essasi muvuzi wa Booda Booda nga addusiddwa mu Ddwaliro bavuzi banne aba booda booda nga Poliisi ekyagezaako okunoonya ddwaliro ki gyatwaliddwa.
Emmundu ekozeseddwa Poliisi egizudde wamu n’amasasi 4 n’ekisosonkole kimu.

Add Your Comment