Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 237 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Bakubye owa booda booda ennyondo e Masaka

September 18, 2021 · Mubiru Ali
Kitalo!
Owa Booda booda attiddwa e Masaka mubukambwe nebamutwalako piki piki ye. Attidwa ye Kayondo Emmanuel 34, ngabadde mutuuze w’e Ssenya mu Gombolola y’e Kimaanya Kabonera mu Masaka City.
Kigambibwa nti abasse Kayondo bamupangisizza okubatwala e Sennya kyokka bwebatuuse mukubo nebakuba ennyondo ku mutwe nebakuulita ne booda bodda ye.
Kayondo abazirakisa bamusanze mukubo nga alaajana nebamuddusa mu Ddwaliro ekkulu e Masaka gyeyafiiridde.
Uganda Police Force efulumizza ebifaananyi byabo abateeberezebwa okutta Kayondo.
Bya Maggie Kayondo.
Okulabula; Graphic Images/ Ebifaananyi byantiisa.