Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 107 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

OSOBOLA OKUGAANA OKUGULIRIRIRWA NGA TOTIDDE KUSIIGA NZIRO – ANNAH ASHABA

October 13, 2021 · Mubiru Ali
Annah Ashaba eyawandiika ekitontome ku mukutu gwe ogwa ‘Twitter’ mwagambira omuntu gweyayita ‘Museveni’ amutwale nga ‘side chic’ agamba nti nga 8-October, 2021, yafunye essimu okuva eri Deputy Director General wa ISO, Lt. Col Emmy Katabazi nga ayagala boogeremu ku kitontome kyeyawandiika.
Ashaba agamba nti nga 9-October, 2021 ye ne mukwano gwe basisinkanye Lt. Col. Katabazi neboogerera ebbanga ggwanvu. Okwawukanako n’okutya kweyalina agamba nti tebamutadde mu ‘drone’ yadde okumukwata obubi. Ashaba agamba nti musanyufu kuba tebamutulugunya olw’ebyo byeyawandiika nga bwebakola Kakwenza Rukirabashaija ne Dr. Stella Nyanzi, ekyamuleetera okulowooza nti oba bakyuusizzaamu mu nkola oba omutima gwakyuuka.
Ono agamba nti yasiimye enkola yokuyita omuntu neboogera nti era singa bagikozesa ne ku bantu abalala ababavuganya, okuyimbula abasibe abakwatibwa ebyobufuzi n’ebirala. Singa amaanyi bagateeka ku nsonga z’abantu okusinga okuggyayo abo ababaleetera obubaka.
Agamba nti ku kyokukyuusa obukulembeze mu Yuganda bakiriziganyizza basigale ku buli omu kyawagira era namutegeeza nti tajja kulekerawo kuwandiika byawandiika nti era tajja kusirika. Ashaba agamba nti bwebavudde mu nsisinkano eno kati awulira obuvumu okugenda mu maaso ngawandiika ebirowoozo bye.
Ashaba agamba nti abantu abalina ebirowoozo ebyenjawulo basobola okubaawo nebogerezeganya awatali kulumya mulala, basobola okubeera n’endowooza ezawukana nga tewali kutya nti onawambibwa, osobola okuwandiika nga totya kuwerebwa, osobola okujanjaba obulwadde bwennyini so ssi bubonero. Osobola okugaana okugulibwa nga teweralikiridde nti banakuwayiriza.