Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 338 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Omuyimbi Mose Radio afudde

February 1, 2018 · Mubiru Ali

Bannayuganda bakeeredde mu kiyongobero eky'okufa kw'omuyimbi era omuwandiisi w'ennyimba Moses Ssekibogo eyakazibwako erya Mose Radio. 

Radio afudde ku maliiri ga leero mu ddwaliro lya Case Hospital  mu Kampala oluvannyuma lw'okuba nti yakubwa gyebuvuddeko mu bbaala emu e Ntebe n'ayisibwa bubi omutwe era n'alongoosebwa omutwe emirundi ebiri wabula tasimattuse magombe. 

Moses Ssekibogo yazaalibwa nga 01 Gatonnya  1985  era nga afiiridde ku myaka 33 nga abadde ayimbira mu kibiina kya Good Lyf .