Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 195 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Oryema omuyimbi Munnayuganda abadde abeera e France afudde

June 22, 2018 · Mubiru Ali

Omuyimbi omwatikirivu mu Nsi yonna nga Munnayuganda Goeffrey Oryema afiiridde ku myaka 65. Ono yafuuka omuyimbi ow’erinnya oluvannyuma lw’okufulumya oluyimba ‘Land of Anaka’. Muyimbi munne Joel Ssebunjo agambye nti ono afudde olw’eggulo lwaleero.

Kigambibwa nti ono yazaalibwa nga 16 – April – 1953 wabula mu 1977 oluvannyuma lwa kitaawe Erinayo Wilson Oryema nga ono yali Minisita mu gavumenti ya Iddi Amin okutemulwa bwatyo yadduka nagenda mu buwangaguse.
Ono yatandika okuyimba mu nnimi nga oluswayiri wamu n’Olucholi, Olungereza n’Olufalansa.

Kitalo nnyo

https://www.youtube.com/results?search_query=geoffrey+oryema+land+of+anaka