Omwogezi wekitongole kyamakomera SCP Frank Baine Mayanja avuddeyo…
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera SCP Frank Baine Mayanja avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo abantu 3 abakubiddwa amasasi agabatiddewo mu kkomera e Kiboga. Abatiddwa kuliko: Ass. Superintendent of Prisons Hope Catherine (Deputy officer in Charge), Principal Officer I Akishuri Bright (3rd in Command) ne Ms. Ayebare Sarah ngono mukyala wa OC. Bano batiddwa omukuumi w’amakomera Anguyo Moses No. 13544 eyesuddemu akambayaya natta bakamabe n’oluvannyuma naddukawo.
Emmundu gyeyakozesezza okutta bano ezuuliddwa wabula nga ye Anguyo tanakwatibwa.
#ffemmwemmweffe

