Omuwaabi wa Gavumenti mu musango gw’Ababaka ba NUP asabye kkooti emwongere obudde akole okunoonyereza

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Ssegiriinya Muhammad ne Hon. Ssewanyana Allan basinzidde mu kkomera e Kigo nebatabukira omuwaabi wa Gavumenti e Masaka Birivumbuka Richard olw’okubalemeza mu kkomera ng’ate akimanyi nti talina bujulizi bubaluma ku misango egyabaggulwako.
Kino kidiridde omuwaabi wa Gavumenti kutegeeza Kkooti nga bwekyalinayo ebbanga eddala lya myezi 6 okugira nga akyanoonyereza ku misango gyabwe egibavunanibwa.
Hon. Ssegirinya yasoose okuwanika omukono nategeeza nti omuwaabi wa Gavumenti kati alufudde luyimba okutegeeza nga Kkooti nti bakyanoonyereza kyokka nga akimanyi bulungi talina bujulizi.
Mu ngeri yeemu n’omubaka Ssewanyana Allan naye agambye nti basaba omuwaabi wa Gavumenti aveeyo n’obwenkanya, ayongedeko omuwaabi bw’aba alemereddwa okuleeta obujulizi babayimbule.
Waliwo n’omu ku basibe Musumba Musa ng’ono naye yakwatibwa mu nsonga z’ebijjambiya naye asinzidde mu kkomera e Kitalya nalaajanira Kkooti emute nti kuba webamukwatira yali afunyemu obutakaanya ne mukyala we nafuluma webamukwatira. Ono agamba nti omwana we omu yafa ngali mu kkomera so ngate naye mulwadde wansigo.
Mukwanukula omulamuzi wa Kkooti ento Nantege Christine azeemu okujukiza abasirikale b’Amakomera okukiriza Ababaka bano okufuna obujanjabi kyokka nabalagira badde mu Kkooti nga 19 – Jan – 2022.
Munnamateeka waabwe era omubaka omukyala akiikirira Kampala Shamim Malende agamba nti kino kyabuswavu nnyo okuba nti omuwaabi wa Gavumenti atandise obuzannyo ngawoza nga bwalina emyezi 6 emirala okugira nga noonyereza natuuka n’okukinagguka nti Ababaka sibalwadde balimba.
Share.

Leave A Reply