Omutegesi webivvulu era Special Presidential Envoy on Events and Entertainment Abbey Musinguzi aka Abitex Promotions avuddeyo nawandiikira
🎵 Omutegesi w’ebivvulu era Special Presidential Envoy on Events and Entertainment Abbey Musinguzi aka @Abitex Promotions avuddeyo nawandiikira Pulezidenti @Yoweri Kaguta Museveni nga yemulugunya ku nneyisa ya Minisita Balaam Barugahara Ateenyi gwalumiriza nti yabulankanya ssente zebivvulu.
Abtex agamba mbu Minisita Balaam nga omutegesi w’ebivvulu wansi w’erinnya Balaam Promotions waliwo ensimbi obuwumbi 2 mu obukadde 200 ezamuweebwa Minisutule y’ekikula ky’ABantu, abakozi n’embeera z’abantu nga ziyita mu Uganda National Cultural Forum nga zaali zakutegeka E-Concerts okwetoloola Uganda yonna.
Abitex agamba nti ensimbi zino zaweebwa Balaam nga 8-February 2022 nga tewaliwo nkola yakusaba okuva eri abantu abenjawulo okutegeka ebivvulu bino era Minisita neyewa omulimu, Abayimbi abawerako okuva mu Karamoja bavaayo nebekalakaasa nebaddukira ewa Gen. Salim Saleh.
Abtex agamba nti yategeka ebivvulu 2 era nga yalina okufuna obukadde 400 nti wabula Balaam yamuwaako 200 namutegeeza nti waliwo Abakungu mu Gavumenti abazit

