Breaking
News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 513 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Kitalo!

March 21, 2026 · Radio Simba

⚽ Kitalo!
Abantu 3 bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku Kyalo Nkonde okuliraana e Kalule mu Disitulikiti y’e Luweero ku luguudo oluva e Kamapal okudda e Gulu Takisi ebadde etisse abawagizi ba kiraabu ya Red Devo FC bwetomereganye ne Loole ekika kya Tata ebadde etisse emiti.
Abawagizi babadde Kiraabu ya Red Devo FC ngeno eva mu Disitulikiti y’e Amolatar babadde badda waka oluvannyuma lwokulaba omupiira wakati wa ttiimu yaabwe ngekubwa Express Football Club ggoolo 4 ku 0 mu Kikopo kya Stanbic Uganda Cup Round of 16 ku Ham Stadium Nakivubo.
Abantu 3 ababadde mu Takisi bafiiriddewo mbulaga nga kuno kuliko: Oyuku Arafat, Owiny Bonny aka Kawinya ne Odyek Juma.
Omuwendo gw’abafudde gweyongedde nebawera 8 ngabalala 5 bafiiridde mu Ddwaliro e Mulago nga bano kuliko: Oyuku Arafat (transport officer), Adar Geoffrey (CEO), Odyek Juma, Owiny Bonny alias Kawinya, Ocen Thomas ne Ogwal Rafael.
Abalala 6 bali mu mbeera mbi mu Ddwaliro e Mulago nga nabalala 4 baddusiddwa mu Ddwaliro eritanategeerekeka e Luweero.

Radio Simba News