97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Omusomesa wa Kabojja asibiddwa emyaka 4

Omusomesa wa Pulayimale eyagezaako okuvuga omuyizi ow’emyaka 11 olupanka nga bagenze okulambula aweereddwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 4 n’ekitundu. Godfrey Muwumuza 43, nga musomesa ku ssomero lya Kabojja Junior School e Kololo mu Kampala yeyakirizza omusango ngayita mu ‘plea-bargaining’ n’oludda oluwaabi.
Omulamuzi Ronald Kayizzi bweyabadde awa ensala ye yategeezezza nti oluvannyuma lwa Muwumuza okutuuka ku nzirikiriziganya n’oludda oluwaabi nga lukiikiriddwa DPP nga 23-June-2025 bwatyo asazeewo okumuwa ekibonerezo.
Omulamuzi yategeezezza nti ku musango ogusooka yamuwadde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 4 n’emyezi 6 okwo nasalako omwezi 1 nenaku 14 zamaze ku alimanda. Ku musango ogwokubiri Muwumuza yaweereddwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 3 kuno era yasazeeko omwezi 1 nenaku 14 zamaze ku alimanda. Ebibonerezo bino byombi byakutambulira wamu.

Leave a Reply