Omusirikale wa Traffic atwaliddwa mu ‘quarantine’

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omusirikale wa Uganda Police Force ow’ebidduka atwaliddwa mu ‘quarantine’ mu Ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw’okuliraana Ddereeva walukululana Munnansi wa Kenya oluvannyuma lwa kabenje akaguddewo ku Jinja Road enkya yaleero.Trailer nnamba ZE 7462 etomereganye ne loole nnamba UAN 877D, era Abasirikale ba Traffic nebasindikibwa bazuule ekivuddeko akabenje kano wamu n’okutetereeza entambula y’ebidduka. Emotoka zombi zigiddwawo nezitwalibwa ku CPS mu Kampala.SGT Wasagami Patrick atudde ne Ddereeva Munnansi wa Kenya Ibrahim Wewa Bejja mu motoka yemu ekireeseewo okutya mu Bakama be. Wewa yagiddwako ‘sample’ ku nsalo nga abadde alinda binavaamu.

Share.

Leave A Reply