Abakozi ba Gavumenti ku Disitulikiti e Soroti bakwatiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force olunaku lw’eggulo kakutte abakozi ba Gavumenti ku Disitulikiti y’e Soroti nga kigambibwa nti bakozeasa bubi offiisi zaabwe saako nokuleetera Gavumenti okufiirwa ensimbi nga bongeramu ensimbi ku misaala. Kigambibwa nti ensimbi ezisoba mu bukadde 500 zasasulwa abakozi ba Gavumenti abataliiyo wamu naabo abawummula nga baweebwa akasiimo. Abakwatiddwa kuliko; Okello Micheal- Internal Auditor, Oonyu Charles – Human Resource Officer ne Okanya Simon- Principal Human Resource Officer ngono bazze bamwemulugunyaako nti akaka abakozi ba Gavumenti abawummula ababa bafunye akasiimo kaabwe okuzza ensimbi ezimu ngabalambi nga Gavumenti bweyakola ensobi nebawa ensimbi nnyingi.
Okanya Simon, olunaku olwaleero asimbiddwa mu Kkooti navunaanibwa omusango gwokufuna ensimbi mu lukujjukujju. Kigambibwa nti ono yajja ensimbi obukadde 20 ku mukozi wa Gavumenti eyali yawummula nebamuwa akasiimo nga agamba nti baali bakoze ensobi nebamuwa ssente nnyingi. Asindikiddwa ku alimanda.
Share.

Leave A Reply