omulangira wasajja menyawo byewayogera – kiwanuka

Maurice Kagimu Kiwanuka, yakedde mu kakiiko n’akategeeza nga Kabaka Mutebi bwe yategeka ne yeebaza Klezia olw’okuyambako Sir Edward Muteesa okutoloka n’asimattuka Obote, n’awa omukadde eyakweka Muteesa ekirabo ky’okumuzimbira ennyumba, ne Wassajja gwe mutima gwe yanditutte okwebaza kitaawe Ben Kiwanuka kubanga kwali kutunda mwoyo okugula ku Muteesa ettaka asobole okufuna ssente ezimubeezaawo mu buwahhanguse.
Omulangira David Wassajja bwe yabadde mu kakiiko wiiki ewedde, yakategeezezza nti kkampuni ya Lake View Proterties yajinga ebiwandiiko n’etunda ettaka lya Muteesa eryali lisangibwa e Mutungo.
Ensonga okutuuka wano, Wassajja ye yaddukidde mu kakiiko n’awawaabira Dr. Muhammed Buwule Kasasa nti ettaka eritudde ku bulooka 237 ku lusozi Mutungo mu Kampala, yatwalako yiika 396.
Kasasa yategeezezza akakiiko nti ettaka yaligula ku Lake View Properties nga baali balisinze mu Barclays Bank gye yaligula.
Kino Kagimu akiwakanya, ng’agamba nti ayagala kutwala Dr. Kasasa mu kkooti annyonnyole engeri gye yagula ettaka mu bbanka ne batamuwa biwandiiko bya kulikyusa.
Kkampuni ya Lake View Properties, bannannyiniyo kwaliko Omugenzi Ben Kiwanuka, Omugenzi Joseph Mubiru eyali gavana wa bbanka ya Uganda enkulu, Munnamateeka Lawrence Ssebalu ne Ssemmanda.
Wano Kagimu we yasinzidde n’ategeeza nti kitaawe yali muntu wa linnya atayinza kwenyigira mu kavuyo ka kubba n’ayongera okukiggumiza nti Wassajja amenyewo bye yayogedde.
Yategeezezza nti Muteesa ng’ali e Bungereza yawa Nalinnya Mpologoma obuyinza okutunda ettaka lino ku lulwe. Empapula ezimuwa obuyinza ne zibagibwa Ben Kiwanuka nga Munnamateeka. Ettaka lye yamuwaako obuyinza lyali liweza yiika 639.
Yaggyeeyo ekitabo ekyawandiikibwa Polof. A.B.K Kasozi: ‘The Bitter Bread of Exile’ ekyafulumizibwa mu 2013 nga kinnyonnyola obulamu Muteesa bwe yayitamu ng’ali mu buwanganguse.
Nga kisimbuliza ebyawandiikibwa mu Taifa Empya nga December 1968. Ben Kiwanuka yannyonnyola nti Muteesa yawa Nnaalinnya Mpologoma obuyinza okutunda ettaka lino.
Wano Kagimu we yasinzidde n’abuuza nti bwe kibeera ng’ettaka lino Ben Kiwanuka yalibba lwaki bino ebyafulumizibwa nga Mpologoma akyali mulamu teyabiwakanya!
“Ssi kituufu nti ettaka twaligula ku Nnaalinnya Mpologoma, twaligula ku Kwemalamala Kintu” Ben bwe yatangaazizza.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Bamusobezzaako kirindi nebamutta – Mityana