Omulangira Wasajja alumirizza Dr. Kasasa okubba ettaka lya kitaawe Ssekabaka Muteesa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omulangira David Kintu Wasajja alumirizza mu kakiiko k’ettaka Dr. Muhammad Bawule Kasasa okubba ettaka lya kitaawe Ssekabaka Edward Muteesa erisangibwa ku kasozi Mutungo nga libalirirwamu ssente obuwumbi mwenda.
Wasajja waatuukidde okuddukira mu kakiiko nga Dr. Kasasa gavumenti yaakamusasulako obuwumbi obusoba mu bubiri n’asigala ng’abanja obuwumbi musanvu. Wasajja akiikiridde ab’olulyo Olulangira agambye akakiiko nti bamaze emyaka egisoba mu 13 nga bali mu kkooti lwa ttaka lino ly’akakasa nti lya kitaawe Ssekabaka Muteesa.
Wasajja ategeezezza omulamuzi Catherine Bamugemereire, ssentebe w’akakiiko k’ettaka nti Muteesa yafuna ettaka lino mu mwaka gwa 1946 nga lyamugulirwa ssenga we gw’ataayatudde mannya.
Agambye nti ekyapa kyali mu manya ga Muteesa naye bweyawangusibwa naddukira e Bungereza olukwe lw’okubba ettaka lye werwatandikirwa nga lwalimu baganda benyini okuli looya Ben kiwanuka ne John Ssebalu.
Anyonyodde akakiiko nti Muteesa ng’ali Bungereza yawa mwanyina omumbejja Nnalinya Mpologoma obuyinza [powers of attorney]okulabirira ettaka lye lyonna n’okumaliririza liizi zeyali agabyeko kyokka Mpologoma teyasobola kubaako kyakola ku ttaka kubanga Amin yamusiba namala omwaka mu kkomera.
Agambye nti nga akyali mu kkomera waliwo powers of attorney endala enjingirire ezafuluma nga ziraga nti Muteesa awadde Mpologoma obuyinza okutunda ettaka lye nga zino zawaandisibwa Ben Kiwanuka kubanga zaali ziraga nti ziva Bungereza.
Anyonyodde ekiwandiiko kino ekijingirire yeyali entandikwa y’okubba ettaka lya kitaawe kubanga lyasooka kugenda mu manya ga Paul Kintu Kwemalamala eyategeeza nti omumbejja Mpologoma yeyamutunza ettaka olwo nezidda mu manya ga kkampuni ya Lake View Properties eya Kiwanuka ne Ssebalu.
Wasajja alumirizza nti ssenga we Mpologoma bweyava e Luzira yakakasa nti tatundanga ttaka lya Muteesa ate ne Muteesa ng’ali mubuwanganguze naye yakakasa nti tatundangako ku ttaka era ebiwandiiko abazungu babitereka bulungi okukakasa ensonga yabwe.
Ayongeddeko nti Dr. Kasasa yali mu lukwe ne ba Kiwanuka okubba ettaka lya gavumenti kubanga mu kiseera weyagulira ettaka okuva ku kkampuni ya lake View yali yagalwa dda era bagezaako okuteeka envumbo ku ttaka obutaligula nga azigyako.
Wasajja mu kakiiko abadde awerekeddwako mwanyina Nnalinya Kagere ne ba looya Medard Ssegona ne Muzamiru Kibeda nasaba akakiiko okuyingira mu nsonga zabwe kabaddize ettaka lya kitaabwe Ssekabaka Muteesa.

Share.

Leave A Reply