Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 366 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Obwakabaka bwakukwatizaako Makerere okuzzaawo ekizimbe ekyayidde omuliro

October 1, 2020 · Mubiru Ali

Obwakabaka bwakukwatizaako Makerere okuzzaawo ekizimbe ekyayidde omuliro

Bino byogeddwa Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa bwabadde akiikiridde Obwakabaka okugenda okusisinkana Omumyuka wa Ssenkulu wa University ye Makerere Prof. Barnabus Nawangwe okumulaga ng’obwakabaka bwebunyolwa wamu naye mu kiseera kino eky’okusomooza.

Owek Nsibirwa agambye nti, Obwakabaka bwenyumiriza mu Prof. Nawangwe olw’a kaweefube gweyassa mu kuddaabiriza ennyumba Ssekabaka Muteesa II mweyasulanga ng’akyasoma e Makerere.

Agambye nti Obwakabaka bweteeseteese okukwatizaako Makerere Okuzimba ekizimbe kya Ivory tower ekyajja omuliro gyebuvuddeko.

Owek Waggwa Nsibirwa awerekeddwako, Minisita w’ebyenjigiriza Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Minisita w’amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Noah Kiyimba.