Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 454 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Oba nze mbiraba obubi? – Bobi Wine

June 1, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine yaweereza obubaka eri eyali Nnankulu wa Kampala Capital City Authority – KCCA oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okugamba nti yamuwa ssente nnyingi naye Kampala yamulema okulongoosa; “Bwenayimba oluyimba lwa “Tugambire ku Jennifer” nali ngezaako kumuwa magezi nti akolere abantu so ssi Mukulembeze wa Ggwanga. Namuwabula nti enkulaakulana nnungi era tugyetaaga, wabula nga tulina kugikolera wamu n’abantu era nga eganyula bantu! Kampala Capital City Authority – KCCA bweyakola nga ebikolobero wamu n’okulinyirira eddembe ly’abantu, nga babawaana nga bwebakola ennyo. Naye olunaku olwaleero baboogerako bintu birala nnyo.
Bwokolerera abantu, olekawo omukululo ebbanga lyonna, wabula bwokolerera omuntu omu, asobola okukyayisa abantu ate n’oluvannyuma nakusuula ate nakunenya olw’ebyo ebitagenda bulungi. Tulabye Kitatta, Kayihura kati Jennifer S. Musisi n’abalala bangi nnyo! Mwe abali mu bifo eby’amaanyi leero, nsuubira mufunamu eky’okuyiga. Mpulira ennaku nga ndaba Bannayuganda bangi bakyaggwa mu katego? Oba nze mbiraba obubi?”