Omulamuzi wEddaala erisooka owa Kkooti e Gulu Mirriam Amoro olunaku lweggulo yasindise omuyizi asoma ebyamateeka ku alimanda ku bigambibwa nti
🎵 Omulamuzi w’Eddaala erisooka owa Kkooti e Gulu Mirriam Amoro olunaku lw’eggulo yasindise omuyizi asoma eby’amateeka ku alimanda ku bigambibwa nti yakuba ebiwandiiko bya Kkooti ekifaananyi nabisaasanya nga tafunye lukusa.
Gloria Grace Laker nga muyizi asoma Dipulooma y’amateeka ku Law Development Center yaguddwa omusango gwokukozesa obubi omutimbagano wamu n’okusaasanya obubuka nga tafunye lukusa. Laker ngabadde akola nga Clerk ku Kkooti Enkulu e Gulu kigambibwa nti wakti wa 6 ne 9 March 2026 yafulumya ekiwandiiko kya Kkooti ku Social Media ekiranga nti Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yaggulwako omusango gwokwogera ebigambo bya kalebule ekikontana n’akawaayiro 25(9) aka Penal Code Act.
Kigambibwa nti omusango baguloopa ku Uganda Police Force e Gulu nga 6-March-2026.
Yasindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 17-March-2026 olwensonga nti omuwaabi wa Gavumenti alina okubeera mu musango gwe yabadde alina omusango omulala mu Kkooti Enkulu gwagoberera.

