Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 455 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi ekutte kkondo abadde atigomya abasuubuzi – Fred Enanga

October 3, 2023 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force mu Ggwanga, Fred Enanga atenderezza Poliisi erwanyisa obubbi olw’okukwata omubbi kkondo, Kuddu Ashiraf eyali yeyita Mr. X aludde ebbanga nga anoonyezebwa.
Ono abadde anoonyezebwa oluvannyuma lw’okukuba Najjuko Prossy amasasi ng’ono yali akola bizinensi ya kukyusa ssente mu katale ka Arubaine e Busia.
Mu ngeri yeemu Enanga ategeezezza nti Poliisi mu Disitulikiti y’e Otuke yasobola okununula emmundu 2 ku babbi mu bimu ku bikwekweto ebibiri byeyakola nga muno n’ababbi babiri battibwa wakati mu kuwanyisiganya amasasi. Okwogera bino, Enanga asinzidde ku kitebe kya Poliisi e Naggulu mu lukung’aana lwa Bannamawulire.