Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 303 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Tugenda kuddamu okwekalakaasa – Isa Ssekitto

July 30, 2024 · Mubiru Ali
Abasuubuzi mu Kibuga Kampala bavuddeyo nebategeeza nga bwebagenda okuggalawo bizineesi zaabwe okutandika n’olunaku olw’enkya okutuusa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atadde ekitiibwa mu nsonga zaabwe wamu n’okwogerako gyebali mu ngeri eyekitiibwa.
Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi bano ekya KACITA, Isa Ssekitto okwogera bino kidiridde Pulezidenti Museveni okusazzaamu ensisinkano gyebalina okubeera naye nga 31-July ku nsonga za EFRIS n’omusolo gwebagamba nti mungi. Abasuubuzi era bategeezezza nti sibasanyufu ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Minsa Kabanda.