Omulamuzi Kisaakye Akakiiko akalonda abalamuzi kaagala agobwe

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko akavunaanyizibwa ku kulonda Abalamuzi mu Ggwanga kasabye kavuddeyo nekasaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akkirize okusaba kwako aggye omulamuzi Esther Kisaakye mu Kkooti Ensukkulumu nga bagamba nti emirimu gyimulemye okukola.
Era Akakiiko kano kasembye ono akolebweko okunoonyereza ku nneeyisa ye awamu n’okuwereekereza Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo ebigambo mu bantu bwebaali bawa ensala y’omusango ogwawabibwa Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bweyali awakanya ebyava mu kulonda kwa 2021. Kinajjukirwa nti Omulamuzi Kisaakye yavaayo nategeeza nti Ssaabalamuzi yali abuzizzaawo fayiro ye omwali ensala ye.
Share.

Leave A Reply